|
EBITUKWATAKO
GYETUVUDDE
Kopen SMS yatandika ng'ogumu ku musomo ogwakolebwa ku university, wabula
oluvanyuma yatongozebwa mu August wa 2004 era mu budde obwo yali ya bwerere.
Oluvanyuma nga tumaze okweyongera okunonyereza n'okukuguka,twakyusa endabika
y'ekibanja kino, era mu ndabika eno empya, ekibanja kino kyafulibwa kyakuweererezaako
bubaka(SMS) nga bufunibwa buterevu ku busimu bw'omungalo bu buliwendinkufuna.
Enteekateeka eno yo yatongozebwa mu January wa 2005.
Nga wayiseewo emyezi ebiri gyokka, abantu bangi nga basoba ne mu 1000,
bettanira nnyo omukutu guno omupya olwempereza yagwo eyali eyanguya obubaka(SMS),
nga yabwerere, ko n'okuweereza abantu abenjawulo obubaka bwebumu, omulundi
gumu(bulk SMS)kko n'ebirungi ebilala nfaafa.
WETUTUUSE
KATI
W'ossomera bino,KOpen SMS nga bwefaanana kati, yefunyiridde nnyo okutumbula
n'okuziba emiwatwa egibadde mu ICT ng'esaawo empereeza ey'ebbeyi nsekobuseko
eri abantu ba ssekinnomu n'eri ebitongole ebyenjawulo mu ngeri y'okutumbulamu
emirimu ne bizinesi ez'enjawulo bisobozese okutumbula n'okukulakulanya
ensi yattu Uganda. Ku Kopen sms tulina abakugu bangi abeetefuteefu okukuyamba
mu buzibu bwo bwonna obukwatagana n'empereza yaffe eno mu kifo kyonna
woba ojagadde mu ggwanga lyonna.
Ekibuuzo:
Lwaki empereza yaffe yabwerere ate bwetaba yabwerere tukusasuza ensimbi
ntono?
Okuddamu:Ebyeyambisibwa okukola n'okutumbula omukutu gwaffe guno ogwa
Kopen SMS bya bbeeyi ddo okuva ku mukutu gwa internet nga tuyita mu kibookisi
kya linux mu lufuutifuti ekiyitibwa APACHE WEBSERVER. n'olwekyo, tulowooza
nti, nga bwetutasasulira bikozesebwa bino wadde omunnwe gw'ennusu,tekiba
kya bwenkannya kubasasuza buwanana bwa nsimbi.
Kopen
SMS yettanira nnyo mu kutumbula n'okuvumbula ebintu nkumu okuyamba ggwe
eyeyambisa omukutu guno ofunire ddala ky'eweetaga. Mu kaseera mpa wekaaga,
tujja kuba tutongozza enkola empya mu lufuutifuuti eyitibwa MOBILE COMMUNITY.
OLUGGI
LWAFFE LUGGULE ERI OMUNTU YENNA ASOBOLA OKUTUYAMBA OKUTWALA ENTEEKATEEKA
ENO MU MAASO OKUSINGIRA DDALA ABAYIZI BA ICT |