|Ebitukwatako | SMS | Ebyemirimu| 21/11/08
 

 

EBIBUUZO EBY'OLUTENTEZI EBIBUUZIBWA(FAQ)


Ekibuuzo:Njawulo ki eriwo wakati wa Kopen solutions, Open-sms ne Smsmania?

Okuddamu:Smsmania y'enkola eyasooka okweyambisibwa nga eri ku mukutu http//smsmania.it.tc. Enkola eno yali ya bwerere nga twakeewandisa ku mukutu guno wabula oluvanyuma netusalawo tugule smsmania.com.Ebyembi,smsmania baali bagiwandisa dda era nga tumaze okuyita mu bibanja eby'enjawulo,twesanga nga tuli ku kibanja Open-sms.net. Ate yo Kopen yajja luvanyuma ekole mu lufuutifuuti ekiyitibwa Trademark kijisobozese okwawukana kw'eyo eyaliwo eyali ekolanga Open solutions. Wabula ekibanja kisigala nga kyekimu nga kiri Open-sms.net

Ekibuuzo:Bwemba nemereddwa okuweereza obubaka(sms)bwange,kiba kivudde ku ki?
Okuddamu:Kino kyabulijjo naye tujja kusaba okole ekyetagisa ng'ekyuma kino kikalimagezi bwe kinakusaba ng'olondako omukutu gwowererezaako obubaka bwo bulungi, okugeza MTN oba MANGO.

Ekibuuzo: Bwemba mpereza obubaka bwange(sms)kitwala obudde buwanvu obubaka buno okutuuka, kiva ku ki?

Okuddamu: Wetuwandikidde bino, tubadde tweyambisa omukutu gumu era ebiseera ebimu twesanga ng'abantu bangi bali mu kugweyambisa kati olwo ne kitegeeza nti oluusi obubaka bwo(sms)buyinza obutatukirawo mangu ago. Naye ekyo tekitegeeza nti obubaka bwo(sms)tebugenda kuweerezebwa.

Ekibuuzo:Nsobola okufuna ennyimba ku ssimu yange ey'omungalo nga mpita ku kibanja kino?
Okuddamu:
Wetuwandikidde bino, tekinologiya gwetulina tatusobozesa kufuna nnyimba zino ng'oyita buterevu ku ssimu yo ey'omungalo. Naye tukusuubiza nti bakakensa baffe bakola butaweera okulaba nti enkola eno esoboka era mu kabanga mpa we kaaga, oja kuba osobola okukozesa enkola eno bulungi.

Ekibuuzo:Nsobola okubeegatako ne nfuka kitundutundu ku Kopen solutions?
Okuddamu:
Omuganda agamba nti okwegatta ge maanyi kale n'olwekyo, tukulindiridde n'amaddu mangi era essanyu lyetunaba nalyo lijja kukirako ery'omwokyi wa ggonja nga tukulabyeko. Ate tusanyukira nnyo omuntu ayinza okuba n'ekitone ng'asobola okufuula Kopen omukutu gwempulizigannya ogw'omulembe okusinga wano we guli.

Ekibuuzo: Bwemba nina ka bizinesi kange nga neetaga kabeere n'ekibanja ku mukutu gwa internet nkola ntya era musobola kunzigyako kyenkana wa?

Okuddamu: Newankubadde tetusobola kukubuulira muwendo gwa nkomeredde ku mulimo guno kati, tukukakasa nti ebisale by'omulimo guno bijja kuba bitono ddala. Lwaki toyogera naffe ne tukaannya ku muwendo?

Ekibuuzo: Bwemba ng'ekibuuzo kyange temukyogeddeko waggulu nkola ntya?

Okuddamu: Tutukirire tujja kuba basanyufu era tukulindiridde 0kusobola okuddamu ebibuuzo byo ko n'okubigonjola.

Copyright K-Open Solutions 2006 Disclaimer